Add parallel Print Page Options

18 (A)Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”

Read full chapter

10 (A)Mpulira bangi nga beegeya nti, “Akabi kali enjuuyi zonna.
    Mumuloope.
    Leka naffe tumuloope.”
Mikwano gyange bonna
    banninda ngwe,
nga bagamba nti, “Oboolyawo anaasobya,
    tumugweko
    tuwoolere eggwanga.”

Read full chapter

13 (A)Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
    tegasangibwa mu nsi y’abalamu.

Read full chapter

(A)Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa.
    Ani amanyi ku bye zadde lye?
Yaggyibwa mu nsi y’abalamu,
    ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.

Read full chapter

(A)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
    n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”

Read full chapter