Add parallel Print Page Options

15 (A)Bamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma,
    abalabe bawulugumye nnyo.
Ensi ye efuuse matongo,
    ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu.

Read full chapter

(A)Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse[a] e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 17:6 Guno mulundi gwakubiri ng’Abayisirayiri mu bukiikakkono batwalibwa mu buwaŋŋanguse (laba 15:29)

10 (A)Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ne lirumba ekibuga ky’e Yerusaalemi, ne kizingizibwa.

Read full chapter

14 (A)N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.

Read full chapter

(A)Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, n’atwalibwa e Babulooni.

Read full chapter