Add parallel Print Page Options

13 (A)Laba nkugguddeko olutalo,
    ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu,
    ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama,
mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba?
    Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”

Read full chapter

14 (A)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
    kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.

Read full chapter

29 (A)Lwaki munyooma ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’

30 (B)Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga.

Read full chapter

(A)“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba
    era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda,
kubanga Mukama ow’Eggye ajja
    kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda,
    era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.

Read full chapter