Add parallel Print Page Options

14 (A)Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri,
    era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe,
gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

11 (A)Amatabi gaakyo bwe gakala,
    gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro.
Bano bantu abatategeera,
    eyamukola tamusaasira,
    n’eyamutonda tamukwatirwa kisa.

Read full chapter

17 (A)Naye obanga amatabi agamu gaawogolebwa, ate nga ggwe eyali omuzeyituuni ogw’omu nsiko wasimbibwa ku kikolo kyagwo, n’ogabana ku bugimu bw’ekikolo ky’omuzeyituuni, 18 (B)teweenyumiririzanga ku matabi ago; naye bwe weenyumirizanga, jjukira nga si gwe owaniridde ekikolo, naye ekikolo kye kikuwaniridde. 19 Oyinza okwogera nti, “Amatabi gaawogolwako, ndyoke nsimbibweko.” 20 (C)Ky’oyogedde kiba kituufu. Weewaawo gaawogolwako lwa butakkiriza, kyokka ggwe onywedde lwa kukkiriza. Teweenyumirizanga, naye otyanga. 21 Kuba obanga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, nammwe ayinza obutabasaasira.

22 (D)Kale mufumiitirize ku kisa n’obukambwe bwa Katonda. Aba mukambwe eri abo abaagwa, naye n’aba wa kisa eri ggwe, bwe weeyongera okunywerera mu kisa kye, kubanga naawe bw’otonywere oliwogolwako. 23 (E)Era n’abo oluvannyuma bwe balikkiriza, balizzibwako ku nduli kubanga Katonda ayinza okubazaako kuli. 24 Kuba obanga ggwe mu buzaaliranwa bwo gwe eyawogolwa ku muzeyituuni, wazzibwa ku muzeyituuni ogutali gwa buzaaliranwa bo, abo ab’obuzaaliranwa tebalisinga nnyo okuzzibwa ku muzeyituuni gwabwe bo?

Read full chapter