Add parallel Print Page Options

10 (A)Temukaabira kabaka afudde
    oba okumukungubagira,
wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,
    kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.

11 (B)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda. 12 (C)Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”

Read full chapter