Add parallel Print Page Options

12 (A)Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,

“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,
    eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama.
‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;
    ‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
13 (B)Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,
    mwajeemera Mukama Katonda wammwe,
mwasinza bakatonda abalala,
    wansi wa buli muti oguyimiridde,
    era ne mutaŋŋondera,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

14 (C)“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. 15 (D)Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera.

Read full chapter

18 (A)Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go,

Read full chapter

(A)Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.

Read full chapter