Add parallel Print Page Options

(A)Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa,
    n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya.
Naye era otemya nga malaaya
    tokwatibwa nsonyi.

Read full chapter

10 (A)Noolwekyo bakazi baabwe
    ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
    zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
    nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
11 (B)Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo,
    babikomya kungulu nga boogera nti,
    Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.
12 (C)Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve?
    Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde,
    so tebamanyi wadde okulimbalimba.
Noolwekyo baligwira mu bagudde,
    balikka lwe balibonerezebwa,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter