Add parallel Print Page Options

40 (A)Ndikola nabo endagaano eteriggwaawo: siribaleka era sirirekeraawo kubakolera birungi, era ndibassaamu omwoyo oguntya, baleme kuddayo kunvaako.

Read full chapter

26 (A)Ndikola endagaano yange ebawa emirembe, eriba ndagaano ey’olubeerera. Ndibanyweza ne mbaaza, era nditeeka ekifo kyange eky’okubeeramu wakati mu bo emirembe gyonna.

Read full chapter

20 (A)Bwe baamala okulya ekyekiro, n’addira nate ekikompe era mu ngeri y’emu n’akibakwasa ng’agamba nti, “Ekikompe kino ke kabonero ak’endagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe.

Read full chapter

(A)Kubanga bw’abanenya ayogera nti,

“Laba ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
    “ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri,
awamu n’ennyumba ya Yuda.
(B)Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe
    lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’e Misiri.
Olw’okubanga tebaagoberera ndagaano yange,
    nange ssaabassaako mwoyo,”
    bw’ayogera Mukama.
10 (C)“Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri,
    oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe
    era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe,
nange nnaabeeranga Katonda waabwe,
    nabo banaabeeranga bantu bange.
11 (D)Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti,
    ‘Manya Mukama,’
Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu
    bonna balimmanya.
12 (E)Era ndibasaasira,
    n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”

Read full chapter

16 (A)“Eno y’endagaano gye ndikola nabo,
    oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe,
    era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”

17 (B)Ayongerako kino nti,

“Sirijjukira nate bibi byabwe
    newaakubadde obujeemu bwabwe.”

Read full chapter