Add parallel Print Page Options

14 (A)ne batumya ne baggya Yeremiya mu luggya lw’abaserikale. Ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, amuzzeeyo ewaabwe. Olwo n’asigala n’abantu be.

Read full chapter

(A)Wabula Yeremiya nga tannaba kukyuka kugenda, Nebuzaladaani n’ayongerako nti, “Ddayo eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w’e Babulooni gw’afudde Gavana w’ebibuga bya Yuda, obeere naye mu bantu, oba genda yonna gy’osiima okubeera.” Awo omuduumizi w’abambowa n’amuwa ebyokulya n’ekirabo n’amuleka.

Read full chapter

Gedaliya Attibwa

(A)Awo abakulu b’eggye lya Yuda bonna n’abasajja baabwe abaali bakyali mu byalo ne bawulira nti, Kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya omwana wa Akikamu okuba Gavana w’ensi era ng’amuwadde obuvunaanyizibwa bw’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana, n’abaali basembayo obwavu mu nsi abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni.

Read full chapter