Add parallel Print Page Options

28 (A)Noolwekyo ensi erikungubaga
    era n’eggulu waggulu lirikwata ekizikiza,
kubanga njogedde
    era maliridde sijja kwejjusa wadde okukyusaamu.”

Read full chapter

10 (A)Ennimiro ziweddemu ebirime;
    ettaka likaze,
Emmere ey’empeke eweddewo,
    omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.

11 (B)Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa,
    mmwe abalima emizabbibu mukaabe.
Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,
    kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
12 (C)Omuzabbibu gukaze
    n’omutiini guyongobedde.
Omukomamawanga, n’olukindu ne apo
    n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.
Abantu tebakyalina ssanyu.

Read full chapter

25 (A)Natunula, era laba, waali tewasigadde muntu n’omu,
    era n’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bidduse.

Read full chapter

10 (A)Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
    era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.
Galekeddwa awo era tegayitwamu,
    n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.
Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa
    n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.

Read full chapter