Add parallel Print Page Options

(A)Weereza obubaka eri Sayuuni nti,
    Mudduke temulwa,
kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono,
    okuzikiriza okw’amaanyi.”

Read full chapter

13 (A)Mukama n’alabula Isirayiri ne Yuda ng’akozesa bannabbi n’abalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange n’ebiragiro byange, ng’etteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.”

Read full chapter

16 (A)Munaabe, mwetukuze
    muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi,
    mulekeraawo okukola ebibi.
17 (B)Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,
    mudduukirirenga abajoogebwa,
musalenga omusango gw’atalina kitaawe,
    muwolerezenga bannamwandu.

18 (C)“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,”
    bw’ayogera Mukama;
“ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu
    binaafuuka byeru ng’omuzira,
ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu,
    binaatukula ng’ebyoya by’endiga.
19 (D)Bwe munaagondanga ne muwulira,
    munaalyanga ebirungi eby’ensi;

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibalekera ekifo kino ne mubeeramu.

Read full chapter