Add parallel Print Page Options

18 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’

Read full chapter

(A)Mu busungu obungi
    amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza;
bw’alabye omulabe ng’asembera,
    n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo;
anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro
    bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.

(B)Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe,
    era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu.
Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso
    mu weema ey’omuwala wa Sayuuni,
okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze;
    obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.

(C)Mukama afuuse ng’omulabe;
    azikirizza Isirayiri,
n’azikiriza embiri ze,
    n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi.
Aleetedde muwala wa Yuda
    okweyongera okukaaba n’okukungubaga.

Read full chapter