Add parallel Print Page Options

25 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, mmwe ne bakazi bammwe mulaze mu bikolwa byammwe ebyo bye mwasuubiza nti, ‘Tujja kukola nga bwe tweyama okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane era n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa.’

“Mugende mu maaso, mukole bye mwasuubiza! Mutuukirize obweyamo bwammwe!

Read full chapter

13 (A)Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu;
    obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi.
Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe
    zijjudde obutali butuukirivu.

Read full chapter

(A)n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kino kye kifo eky’entebe ey’obwakabaka bwange, era ekifo eky’ebigere byange mwe nnaabeeranga wakati mu bantu ba Isirayiri emirembe gyonna. Ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo kuvvoola linnya lyange ettukuvu, bo newaakubadde bakabaka baabwe, nga basinza emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu.

Read full chapter