Add parallel Print Page Options

30 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ŋŋenda kuwaayo Falaawo Kofera kabaka w’e Misiri eri abalabe be abanoonya okumutta, nga bwe n’awaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, omulabe eyamunoonya okumutta.’ ”

Read full chapter

11 (A)“ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ekitala kya kabaka w’e Babulooni
    kirikutabaala.

Read full chapter

11 (A)Tewaliba kigere kya muntu newaakubadde ky’ensolo ekiri giyitamu, so teribeerwamu okumala emyaka amakumi ana. 12 (B)Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.

13 “ ‘Naye Mukama Katonda agamba nti; Oluvannyuma lw’emyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira, 14 (C)era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi ey’e Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa. 15 (D)Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga. 16 (E)Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo eky’ekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda.’ ”

Read full chapter