Yeremiya 46:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango.
Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa,
okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi.
Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.
Ezeekyeri 26:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Olwo abalangira bonna ab’oku lukalu lw’ennyanja baliva ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka ne bambulamu ebyambalo byabwe ne baggyako n’engoye zaabwe ez’emiddalizo. Mu kutya okungi, balituula wansi ku ttaka, nga bakankana buli kaseera nga basamaaliridde.
Read full chapter
Ezeekyeri 27:35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
35 (A)Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja
bafunye ensisi,
era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa
tebafaananika mu maaso olw’entiisa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.