Add parallel Print Page Options

(A)“Mudduke okuva e Babulooni;
    muleke ensi y’Abakaludaaya,
    mubeere ng’embuzi ezikulembera ekisibo.

Read full chapter

(A)“Mudduke Babulooni.
    Mudduke okuwonya obulamu bwammwe.
    Temusaanawo olw’ebibi bye.
Kiseera kya Mukama okwesasuza;
    alimusasula ekyo ekimusaanira.

Read full chapter

45 (A)“Mukiveemu, abantu bange!
    Mudduke muwonye obulamu bwammwe!
    Mudduke muwone obusungu bwa Mukama obubuubuuka.

Read full chapter

(A)“Kale mudduke, mudduke ensi ey’obukiikakkono mugiveemu,” bw’ayogera Mukama, “kubanga mbasaasanyizza ng’empewo ennya ez’eggulu bwe ziri,” bw’ayogera Mukama.

(B)“Mmwe Sayuuni mudduke, mudukke muwone mmwe ababeera mu buwaŋŋanguse mu Babulooni.”

Read full chapter

(A)Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti,

“ ‘Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo’
    muleme kwegatta mu bibi bye,
    muleme kubonerezebwa wamu naye.

Read full chapter

13 (A)Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi.
    Muyimbe mmwe ensozi!
    Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.

Read full chapter

(A)Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna,
    mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika.
Kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
    anunudde Yerusaalemi.

Read full chapter

(A)Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna,
    era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya.
Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula;
    yabayimusa
    n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.

Read full chapter