Add parallel Print Page Options

14 (A)Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe;
    ddala ndikujjuza abasajja, ng’ebibinja by’enzige,
    era balireekaana nga bakuwangudde.

Read full chapter

44 (A)Ndibonereza Beri mu Babulooni,
    mmusesemye bye yali amize.
Amawanga nga tegakyesomba kugenda gyali.
    Ne bbugwe wa Babulooni aligwa.

Read full chapter

58 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa
    era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe;
abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,
    okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”

Read full chapter

(A)“Mudduke Babulooni.
    Mudduke okuwonya obulamu bwammwe.
    Temusaanawo olw’ebibi bye.
Kiseera kya Mukama okwesasuza;
    alimusasula ekyo ekimusaanira.

Read full chapter

(A)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
    yeesiimye oyo alikusasula ebyo
    nga naawe bye watukola.

Read full chapter

(A)Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala;
    mumubonereze emirundi ebiri olw’ebikolwa bye ebibi.
    Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.

Read full chapter