Add parallel Print Page Options

22 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti,

“Laba, eggye lijja
    eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
eggwanga ery’amaanyi
    liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.

Read full chapter

(A)Muwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi,
    nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene!
Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka,
    olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu!
Mukama Katonda ow’Eggye ateekateeka
    eggye lye okulwana.

Read full chapter

22 (A)era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi,
    era ggwe ndikozesa okubetenta omukadde n’omuvubuka,
    era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala omuto.
23 (B)Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye,
    ggwe gwe ndikozesa okubetenta omulimi n’ente ennume,
    ggwe gwe ndikozesa okubetenta bagavana n’abakungu.

24 (C)“Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera Mukama.

25 (D)“Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza,
    mmwe abazikiriza ensi yonna,”
    bw’ayogera Mukama.
“Ndikugolererako omukono gwange,
    nkusuule ku mayinja g’ensozi,
    nkufuule olusozi olutakyayaka.
26 (E)Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda,
    wadde ejjinja lyonna okukola omusingi,
    kubanga olibeera matongo emirembe gyonna,”
    bw’ayogera Mukama.

27 (F)“Yimusa bendera mu ggwanga!
    Fuuwa omulere mu mawanga!
Tegeka amawanga okumulwanyisa;
    koowoola obwakabaka buno bumulumbe:
    obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi.
Londa omuduumizi amulumba,
    weereza embalaasi eziri ng’ekibinja ky’enzige.
28 (G)Teekateeka amawanga okumulwanyisa;
    bakabaka Abameedi,
bagavana baabwe era n’abakungu baabwe bonna,
    n’amawanga ge bafuga.

Read full chapter