Add parallel Print Page Options

(A)“Bategeka olulimi lwabwe
    ng’omutego ogunasula obulimba;
bakulaakulanye mu ggwanga
    naye nga tebayimiridde ku mazima,
kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;
    era tebammanyi,”
    bw’ayogera Mukama.
(B)“Mwegendereze mikwano gyammwe
    era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
    na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
Buli muntu alimba muliraanwa we
    era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
    ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
(C)Mubeera wakati mu bulimba;
    mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

(D)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa,
    kiki ate kye nnaakolera abantu bange
    kubanga boonoonye?
(E)Olulimi lwabwe kasaale akatta,
    lwogera bya bulimba,
buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke,
    naye mu mutima gwe ategeka kumutega.

Read full chapter

57 (A)Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,
    ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi;
balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”
    bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.

Read full chapter