Add parallel Print Page Options

Setaani Agezesa Yobu

(A)Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n’ajjiramu. (B)Mukama n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?”

Setaani n’addamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.”

(C)Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?”

(D)Setaani n’addamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere? 10 (E)Tomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi! 11 (F)Kale geza okwate ku by’alina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga n’ensi yonna eraba!” 12 Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Byonna by’alina biri mu mikono gyo, naye togeza n’okwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lw’ebyo Setaani n’ava mu maaso ga Mukama.

Read full chapter

(A)“Kubanga ndiwa ekiragiro,
    ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa
    mu mawanga gonna,
ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta
    era tewaliba kayinja akaligwa wansi.

Read full chapter