Add parallel Print Page Options

18 (A)“Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange?
    Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko.
19 Singa satondebwa,
    oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa.

Read full chapter

14 (A)Lukolimirwe
    olunaku kwe nazaalirwa!
Olunaku mmange kwe yanzaalira
    luleme kuweebwa mukisa!
15 Akolimirwe eyaleetera kitange amawulire,
    agaamusanyusa ennyo,
    ng’agamba nti, “Omwana omulenzi akuzaaliddwa.”
16 (B)Omusajja oyo abeere ng’ebibuga Mukama bye yamenyaamenya
    awatali kusaasira kwonna.
Okukaaba kuwulirwe ku makya,
    ne nduulu z’abalwanyi mu ttuntu.
17 (C)Yandinzitidde mu lubuto lwa mmange.
    Mmange yandibadde entaana yange,
    olubuto lwe ne luba lunene emirembe gyonna.
18 (D)Lwaki nava mu lubuto
    okulaba emitawaana n’obuyinike
    era ennaku zange ne nzimala mu buswavu?

Read full chapter