Yobu 10:21-22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)nga sinnaba kugenda mu kifo eteri kudda,
ekiri mu nsi ejjudde ekizikiza, n’ekisiikirize eky’ebuziba,
22 y’ensi ey’ekizikiza ekikutte, eyeekisiikirize eky’ebuziba
era n’okutabukatabuka,
ng’omusana gwayo guli nga ekizikiza.”
Zabbuli 3:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
abanneetoolodde, okunnumba.
Zabbuli 27:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Zabbuli ya Dawudi.
27 (A)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
ani asobola okuntiisa?
Isaaya 43:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu
nnaabeeranga naawe,
ne bw’onooyitanga mu migga
tegirikusaanyaawo;
bw’onooyitanga mu muliro
tegukwokyenga,
ennimi z’omuliro tezirikwokya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.