Yobu 15:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)“Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu,
oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu?
Zabbuli 143:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
Omubuulizi 7:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu,
atakola bibi.
Yeremiya 17:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,
era gulwadde endwadde etawonyezeka.
Ani ayinza okugutegeera?
Yakobo 3:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okufuga olulimi
3 Abooluganda, abayigiriza tebasaanye kubeera bangi mu mmwe, kubanga mukimanyi nga ffe tulisalirwa omusango munene okusinga abalala.
Read full chapter
1 Yokaana 1:8-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. 9 (B)Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. 10 (C)Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.
Read full chapter
Ebyabaleevi 26:44
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
44 (A)Newaakubadde ng’ebyo biriba bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi z’abalabe baabwe, siibeggyengako wadde okubakyawanga n’okumenyawo ne mmenyerawo ddala endagaano yange gye nalagaana nabo; kubanga Nze Mukama Katonda waabwe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.