Add parallel Print Page Options

13 (A)Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi,
    bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,

Read full chapter

(A)Eriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba;
    amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo.
(B)Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda,
    bw’atyo n’aziikwa mu ntaana talivaayo.
10 (C)Taliddayo mu nnyumba ye,
    amaka ge tegaliddayo kumumanya nate.

Read full chapter

21 (A)Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange,
    n’oggyawo obutali butuukirivu bwange?
Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana;
    era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.”

Read full chapter

22 y’ensi ey’ekizikiza ekikutte, eyeekisiikirize eky’ebuziba
    era n’okutabukatabuka,
    ng’omusana gwayo guli nga ekizikiza.”

Read full chapter

10 (A)Naye omuntu afa era n’agalamizibwa,
    assa ogw’enkomerero n’akoma.
11 (B)Ng’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja
    oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo,
12 (C)bw’atyo omuntu bw’agalamira,
    era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo,
    abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.

Read full chapter

27 (A)nze mwene ndimulaba,
    n’amaaso gange, Nze, so si mulala.
    Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!

Read full chapter

13 (A)Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi,
    mangwago ne bakka mu ntaana.

Read full chapter

23 Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi,
    nga munywevu ddala ali mu mirembe gye,

Read full chapter