Add parallel Print Page Options

Birudaadi Ayanukula

18 Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti,

“Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo?
    Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.
(A)Lwaki tutwalibwa ng’ente
    era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?
(B)Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu,
    abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?

(C)“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
    era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
Ekitangaala kivudde mu weema ye;
    n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
(D)Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,
    era enkwe ze, ze zimusuula.
(E)Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba
    era n’atangatanga mu butimba.
Omutego gumukwata ekisinziiro;
    akamasu ne kamunyweeza.
10 Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;
    akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11 (F)Entiisa emukanga enjuuyi zonna
    era n’emugoba kigere ku kigere.
12 (G)Emitawaana gimwesunga;
    ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13 (H)Kirya ebitundu by’olususu lwe;
    omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14 (I)Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
    era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15 (J)Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;
    ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16 (K)Emirandira gye gikala wansi,
    n’amatabi ge gakala waggulu.
17 (L)Ekijjukizo kye kibula ku nsi;
    talina linnya mu nsi.
18 (M)Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza
    n’aggyibwa mu nsi.
19 (N)Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
    newaakubadde ekifo mwabeera.
20 (O)Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;
    n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21 (P)Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
    bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”

Bildad

18 Then Bildad the Shuhite(A) replied:

“When will you end these speeches?(B)
    Be sensible, and then we can talk.
Why are we regarded as cattle(C)
    and considered stupid in your sight?(D)
You who tear yourself(E) to pieces in your anger,(F)
    is the earth to be abandoned for your sake?
    Or must the rocks be moved from their place?(G)

“The lamp of a wicked man is snuffed out;(H)
    the flame of his fire stops burning.(I)
The light in his tent(J) becomes dark;(K)
    the lamp beside him goes out.(L)
The vigor(M) of his step is weakened;(N)
    his own schemes(O) throw him down.(P)
His feet thrust him into a net;(Q)
    he wanders into its mesh.
A trap seizes him by the heel;
    a snare(R) holds him fast.(S)
10 A noose(T) is hidden for him on the ground;
    a trap(U) lies in his path.(V)
11 Terrors(W) startle him on every side(X)
    and dog(Y) his every step.
12 Calamity(Z) is hungry(AA) for him;
    disaster(AB) is ready for him when he falls.(AC)
13 It eats away parts of his skin;(AD)
    death’s firstborn devours his limbs.(AE)
14 He is torn from the security of his tent(AF)
    and marched off to the king(AG) of terrors.(AH)
15 Fire resides[a] in his tent;(AI)
    burning sulfur(AJ) is scattered over his dwelling.
16 His roots dry up below(AK)
    and his branches wither above.(AL)
17 The memory of him perishes from the earth;(AM)
    he has no name(AN) in the land.(AO)
18 He is driven from light into the realm of darkness(AP)
    and is banished(AQ) from the world.(AR)
19 He has no offspring(AS) or descendants(AT) among his people,
    no survivor(AU) where once he lived.(AV)
20 People of the west are appalled(AW) at his fate;(AX)
    those of the east are seized with horror.
21 Surely such is the dwelling(AY) of an evil man;(AZ)
    such is the place(BA) of one who does not know God.”(BB)

Footnotes

  1. Job 18:15 Or Nothing he had remains