Add parallel Print Page Options

29 (A)nammwe bennyini musaana mutye ekitala.
    Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala,
    olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”

Read full chapter

(A)Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo,
    n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo;
tambulira mu makubo g’omutima gwo
    ne mu kulaba kw’amaaso go.
Naye manya nga mu byonna,
    Katonda agenda kukusalira omusango.

Read full chapter

27 (A)Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.

Read full chapter

(A)Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. (B)Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi ery’okuweebwa ekitiibwa, ettendo n’obulamu obw’emirembe n’emirembe. (C)Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu.

Read full chapter

(A)ate ng’abo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde. (B)Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bw’aliva mu ggulu, ne bamalayika be ab’amaanyi,

Read full chapter

Buli Kintu Kirina Ekiseera Kyakyo

(A)Buli kintu kirina ekiseera kyakyo,
    na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.

Read full chapter