Add parallel Print Page Options

Erifaazi Ayogera

Awo Erifaazi Omutemani n’ayanukula ng’agamba nti,

(A)“Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga?
    Naye ani ayinza okusirika obusirisi?
(B)Laba, wayigiriza bangi,
    emikono eminafu wagizzaamu amaanyi.
(C)Ebigambo byo byanyweza abaali bagwa,
    era ng’ozzaamu amaanyi amaviivi agaali gakankana.
(D)Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi;
    kikutte ku ggwe n’oggwaawo!
(E)Okutya Katonda wo si bwe bwesige bwo,
    n’obwesimbu bwo si ly’essuubi lyo?

(F)“Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde?
    Oba wa abatuukirivu gye baali bamaliddwawo?
(G)Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu,
    bakungula bizibu.
(H)Bazikirizibwa omukka Katonda gw’assa,
    bamalibwawo obusungu bwe.
10 (I)Okuwuluguma kw’empologoma, n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe,
    n’amannyo g’empologoma ento gamenyeka.
11 (J)Empologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo,
    n’obwana bw’empologoma busaasaana.

12 (K)“Nategeezebwa ekigambo eky’ekyama,
    ne nkitegera okutu.
13 (L)Wakati mu birowoozo n’okwolesebwa kw’ekiro
    ng’otulo otungi tukutte omuntu,
14 (M)okutya n’okukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya.
15 Omwoyo gw’ayita mu maaso gange,
    obwoya bw’oku mubiri gwange ne buyimirira.
16 Ne buyimirira butengerera,
    naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo,
n’ekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro,
    ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
17 (N)‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda?
    Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we?
18 (O)Obanga abaddu be tabeesiga,
    nga bamalayika be abalanga ensobi
19 (P)kale kiriba kitya,
    abo abasula mu z’ebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu,
    ababetentebwa n’okusinga ekiwojjolo?
20 (Q)Bamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi,
    bazikirira emirembe n’emirembe awatali abafaako.
21 (R)Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda,
    ne bafa ng’abasirusiru.’ ”

Eliphaz

Then Eliphaz the Temanite(A) replied:

“If someone ventures a word with you, will you be impatient?
    But who can keep from speaking?(B)
Think how you have instructed many,(C)
    how you have strengthened feeble hands.(D)
Your words have supported those who stumbled;(E)
    you have strengthened faltering knees.(F)
But now trouble comes to you, and you are discouraged;(G)
    it strikes(H) you, and you are dismayed.(I)
Should not your piety be your confidence(J)
    and your blameless(K) ways your hope?

“Consider now: Who, being innocent, has ever perished?(L)
    Where were the upright ever destroyed?(M)
As I have observed,(N) those who plow evil(O)
    and those who sow trouble reap it.(P)
At the breath of God(Q) they perish;
    at the blast of his anger they are no more.(R)
10 The lions may roar(S) and growl,
    yet the teeth of the great lions(T) are broken.(U)
11 The lion perishes for lack of prey,(V)
    and the cubs of the lioness are scattered.(W)

12 “A word(X) was secretly brought to me,
    my ears caught a whisper(Y) of it.(Z)
13 Amid disquieting dreams in the night,
    when deep sleep falls on people,(AA)
14 fear and trembling(AB) seized me
    and made all my bones shake.(AC)
15 A spirit glided past my face,
    and the hair on my body stood on end.(AD)
16 It stopped,
    but I could not tell what it was.
A form stood before my eyes,
    and I heard a hushed voice:(AE)
17 ‘Can a mortal be more righteous than God?(AF)
    Can even a strong man be more pure than his Maker?(AG)
18 If God places no trust in his servants,(AH)
    if he charges his angels with error,(AI)
19 how much more those who live in houses of clay,(AJ)
    whose foundations(AK) are in the dust,(AL)
    who are crushed(AM) more readily than a moth!(AN)
20 Between dawn and dusk they are broken to pieces;
    unnoticed, they perish forever.(AO)
21 Are not the cords of their tent pulled up,(AP)
    so that they die(AQ) without wisdom?’(AR)