Add parallel Print Page Options

(A)Olina omukono ng’ogwa Katonda,
    eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye?

Read full chapter

10 (A)Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
    bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
    ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu
    era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,
    era alina omutima oguva ku Katonda.

Read full chapter

21 (A)Waggya abantu bo Isirayiri mu Misiri n’obubonero n’eby’amagero, n’omukono gwo ogw’amaanyi gwe wagolola n’entiisa ey’amaanyi.

Read full chapter

22 (A)Temubatyanga; kubanga Mukama Katonda wammwe yennyini y’anaabalwaniriranga.”

Read full chapter

45 (A)Naye Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza.

Read full chapter

12 (A)Laba, Katonda ali naffe, era ye mukulembeze waffe, era ne bakabona be banaafuuwa amakondeere mu maloboozi ag’olutalo, okuggulawo okulwana nammwe. Abasajja Abayisirayiri temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, temujja kuwangula.”

Read full chapter

22 (A)Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.

Read full chapter

17 (A)Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bw’anaabawa mmwe Yuda ne Yerusaalemi. Temutya wadde okuggwaamu omwoyo; enkya mugende mubasisinkane, Mukama anaabeera nammwe.’ ”

Read full chapter

(A)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
    naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.

Read full chapter

(A)Aliba n’omwoyo ogw’okusala ensonga mu bwenkanya
    oyo atuula n’asala emisango,
Aliba nsibuko ya maanyi
    eri abo abawoza olutabaalo ku wankaaki.

Read full chapter