Add parallel Print Page Options

Yobu Ayanukula

Yobu n’alyoka addamu nti,

(A)“Ddala nkimanyi nga kino kituufu.
    Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?
(B)Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye,
    tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
(C)Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo;
    ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?
(D)Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde
    era n’azivuunika ng’asunguwadde.
(E)Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo
    era n’akankanya empagi zaayo.
(F)Ayogera eri enjuba ne teyaka,
    akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika.
(G)Ye yekka abamba eggulu
    era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja.
(H)Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga,
    n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.
10 (I)Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola,
    n’akola n’ebyamagero ebitabalika.
11 (J)Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba,
    bw’ampitako, sisobola kumutegeera.
12 (K)Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza?
    Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?
13 (L)Katonda taziyiza busungu bwe;
    n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye.
14 Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye?
    Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?
15 (M)Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu,
    mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.
16 Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba,
    sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.
17 (N)Yandimenyeemenye mu muyaga
    nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.
18 (O)Teyandindese kuddamu mukka
    naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.
19 Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi.
    Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?
20 Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde.
    Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.

21 (P)“Wadde nga sirina kyakunenyezebwa,
    sikyefaako,
    obulamu bwange mbunyooma.
22 (Q)Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti,
    Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.
23 (R)Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo,
    Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango.
24 (S)Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi.
    Abikka ku maaso g’abagiramula.
    Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
25 (T)Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi,
    zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.
26 (U)Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo[a] agadduka ennyo,
    ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.
27 (V)Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange,
    oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,
28 (W)ne neekokkola okubonaabona kwange,
    mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango.
29 (X)Omusango gunsinze,
    lwaki nteganira obwereere?
30 (Y)Ne bwe nandinaabye sabbuuni
    n’engalo zange ne nzitukuza,
31 era wandinsudde mu kinnya,
    n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa.
32 (Z)Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu,
    era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka.
33 (AA)Tewali mutabaganya
    ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,
34 (AB)eyandizigyeko omuggo gwa Katonda
    entiisa ye n’erekeraawo okunzijira.
35 (AC)Olwo nno nandyogedde nga simutya;
    naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”

Footnotes

  1. 9:26 Amaato ag’ebitoogo gaakolebwanga mu Misiri

Job

Then Job replied:

“Indeed, I know that this is true.
    But how can mere mortals prove their innocence before God?(A)
Though they wished to dispute with him,(B)
    they could not answer him one time out of a thousand.(C)
His wisdom(D) is profound, his power is vast.(E)
    Who has resisted(F) him and come out unscathed?(G)
He moves mountains(H) without their knowing it
    and overturns them in his anger.(I)
He shakes the earth(J) from its place
    and makes its pillars tremble.(K)
He speaks to the sun and it does not shine;(L)
    he seals off the light of the stars.(M)
He alone stretches out the heavens(N)
    and treads on the waves of the sea.(O)
He is the Maker(P) of the Bear[a] and Orion,
    the Pleiades and the constellations of the south.(Q)
10 He performs wonders(R) that cannot be fathomed,
    miracles that cannot be counted.(S)
11 When he passes me, I cannot see him;
    when he goes by, I cannot perceive him.(T)
12 If he snatches away, who can stop him?(U)
    Who can say to him, ‘What are you doing?’(V)
13 God does not restrain his anger;(W)
    even the cohorts of Rahab(X) cowered at his feet.

14 “How then can I dispute with him?
    How can I find words to argue with him?(Y)
15 Though I were innocent, I could not answer him;(Z)
    I could only plead(AA) with my Judge(AB) for mercy.(AC)
16 Even if I summoned him and he responded,
    I do not believe he would give me a hearing.(AD)
17 He would crush me(AE) with a storm(AF)
    and multiply(AG) my wounds for no reason.(AH)
18 He would not let me catch my breath
    but would overwhelm me with misery.(AI)
19 If it is a matter of strength, he is mighty!(AJ)
    And if it is a matter of justice, who can challenge him[b]?(AK)
20 Even if I were innocent, my mouth would condemn me;
    if I were blameless, it would pronounce me guilty.(AL)

21 “Although I am blameless,(AM)
    I have no concern for myself;(AN)
    I despise my own life.(AO)
22 It is all the same; that is why I say,
    ‘He destroys both the blameless and the wicked.’(AP)
23 When a scourge(AQ) brings sudden death,
    he mocks the despair of the innocent.(AR)
24 When a land falls into the hands of the wicked,(AS)
    he blindfolds its judges.(AT)
    If it is not he, then who is it?(AU)

25 “My days are swifter than a runner;(AV)
    they fly away without a glimpse of joy.(AW)
26 They skim past(AX) like boats of papyrus,(AY)
    like eagles swooping down on their prey.(AZ)
27 If I say, ‘I will forget my complaint,(BA)
    I will change my expression, and smile,’
28 I still dread(BB) all my sufferings,
    for I know you will not hold me innocent.(BC)
29 Since I am already found guilty,
    why should I struggle in vain?(BD)
30 Even if I washed myself with soap(BE)
    and my hands(BF) with cleansing powder,(BG)
31 you would plunge me into a slime pit(BH)
    so that even my clothes would detest me.(BI)

32 “He is not a mere mortal(BJ) like me that I might answer him,(BK)
    that we might confront each other in court.(BL)
33 If only there were someone to mediate between us,(BM)
    someone to bring us together,(BN)
34 someone to remove God’s rod from me,(BO)
    so that his terror would frighten me no more.(BP)
35 Then I would speak up without fear of him,(BQ)
    but as it now stands with me, I cannot.(BR)

Footnotes

  1. Job 9:9 Or of Leo
  2. Job 9:19 See Septuagint; Hebrew me.