Yobu 31:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu?
Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki?
Koseya 9:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Ennaku ez’okubonerezebwa zijja,
ennaku ez’okusasulirwamu ziri kumpi.
Ekyo Isirayiri akimanye.
Olw’ebibi byammwe okuba ebingi ennyo,
n’obukambwe bwammwe obungi,
nnabbi ayitibwa musirusiru,
n’oyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.
Lukka 19:44
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
44 (A)ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”
Read full chapter
Isaaya 20:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’ ”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.