Add parallel Print Page Options

(A)Awo Peetero n’omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana. Bombi ne bagenda nga badduka, omuyigirizwa oli omulala n’ayisa Peetero n’amusooka ku ntaana. (B)N’akutama n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo, kyokka n’atayingira mu ntaana. Awo ne Simooni Peetero n’atuuka, n’ayingira mu ntaana, n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo. (C)N’alaba n’ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa era nga kiteekebbwa ku bbali.

Read full chapter

10 Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.

Read full chapter