Add parallel Print Page Options

53 (A)Awo Kitaawe w’omulenzi n’ajjukira nga ky’ekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo n’ab’enju ye bonna ne bakkiriza.

Read full chapter

15 (A)Bw’atyo n’abatizibwa n’ab’omu nnyumba ye bonna. N’atuyita tumukyalire mu maka ge, ng’agamba nti, “Obanga mukakasa nti nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” N’atuwaliriza.

Read full chapter

31 (A)Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.” 32 Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye n’ab’omu maka ge bonna. 33 (B)Mu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa. 34 (C)Omukuumi w’ekkomera n’abatwala mu nnyumba ye, n’abawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.

Read full chapter

11 Abooluganda, ab’ewa Kuloowe bannyinnyonnyola nti mu mmwe mulimu ennyombo.

Read full chapter

16 (A)Naye nzijukira nga nabatiza ab’omu nnyumba ya Suteefana, naye sirowooza nga nabatiza omuntu omulala yenna.

Read full chapter