Add parallel Print Page Options

Yesu ne Nikodemo

(A)Awo waaliwo omukulembeze w’Abayudaaya erinnya lye Nikodemo, Omufalisaayo, (B)n’ajja eri Yesu ekiro okwogera naye. N’amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga eby’amagero by’okola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye.”

(C)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”

Nikodemo n’amuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw’aba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, n’azaalibwa?”

(D)Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’Omwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. (E)Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, n’ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. Empewo ekuntira gy’eyagala, n’owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva newaakubadde gyegenda; bw’atyo bw’abeera omuntu yenna azaalibwa Omwoyo.”

(F)Nikodemo n’amubuuza nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?”

10 (G)Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe omuyigiriza wa Isirayiri, n’otomanya bintu bino? 11 (H)Ddala ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi, ne tutegeeza kye twalaba, so temukkiriza bujulirwa bwaffe. 12 Naye obanga temukkiriza bwe mbabuulira eby’ensi, kale munaasobola mutya okukkiriza bwe nnaababuulira eby’omu ggulu? 13 (I)Kubanga tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, okuggyako eyava mu ggulu, ye Mwana w’Omuntu. 14 (J)Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n’Omwana w’Omuntu kimugwanira okuwanikibwa, 15 (K)buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo.

16 (L)“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. 17 (M)Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. 18 (N)Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya ly’Omwana oyo omu yekka owa Katonda. 19 (O)Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. 20 (P)Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. 21 Naye buli ajja eri omusana akola eby’amazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”

Yesu ne Yokaana Omubatiza

22 (Q)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’abayigirizwa be ne bajja mu nsi y’e Buyudaaya, n’abeera eyo nabo, era n’abatiza. 23 Mu kiseera ekyo ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi ne Salimu, kubanga awo waaliwo amazzi mangi, era ng’abantu bangi bajja okubatizibwa, 24 (R)olwo nga tannateekebwa mu kkomera. 25 (S)Ne wabaawo empaka wakati w’abayigirizwa ba Yokaana n’Omuyudaaya ku nsonga ey’okutukuzibwa. 26 (T)Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala w’omugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gy’ali.”

27 Yokaana n’abaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu. 28 (U)Mmwe mwennyini mukimanyi bulungi nga bwe nabagamba nti, ‘Si nze Kristo.’ Nze natumibwa okumukulembera. 29 (V)Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ng’amuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi ly’oyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde. 30 Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.

31 (W)“Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Ow’omu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi. 32 (X)Ye ategeeza ebyo bye yalaba ne bye yawulira, so tewali akkiriza by’ategeeza. 33 Naye oyo akkiriza by’ategeeza akakasa nti Katonda wa mazima. 34 (Y)Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa. 35 (Z)Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe. 36 (AA)Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”