Add parallel Print Page Options

Yona Agondera Mukama

(A)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, n’amugamba nti, “Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule n’obubaka buno bwe nkuwa.”

Awo Yona n’agondera Mukama n’agenda e Nineeve. Nineeve kyali kibuga kya kitiibwa nnyo era nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna. Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ng’agenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.” (B)Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.

(C)Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu. (D)Kabaka teyakoma awo, wabula n’ayisa n’etteeka n’alibunya Nineeve yonna nga ligamba nti,

Olw’ekiragiro kya kabaka n’abakungu be:

“Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi; (E)naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe. (F)Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.”

10 (G)Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.

Jonah Goes to Nineveh

Then the word of the Lord came to Jonah(A) a second time: “Go to the great city of Nineveh and proclaim to it the message I give you.”

Jonah obeyed the word of the Lord and went to Nineveh. Now Nineveh was a very large city; it took three days to go through it. Jonah began by going a day’s journey into the city, proclaiming,(B) “Forty more days and Nineveh will be overthrown.” The Ninevites believed God. A fast was proclaimed, and all of them, from the greatest to the least, put on sackcloth.(C)

When Jonah’s warning reached the king of Nineveh, he rose from his throne, took off his royal robes, covered himself with sackcloth and sat down in the dust.(D) This is the proclamation he issued in Nineveh:

“By the decree of the king and his nobles:

Do not let people or animals, herds or flocks, taste anything; do not let them eat or drink.(E) But let people and animals be covered with sackcloth. Let everyone call(F) urgently on God. Let them give up(G) their evil ways(H) and their violence.(I) Who knows?(J) God may yet relent(K) and with compassion turn(L) from his fierce anger(M) so that we will not perish.”

10 When God saw what they did and how they turned from their evil ways, he relented(N) and did not bring on them the destruction(O) he had threatened.(P)