Add parallel Print Page Options

Amawanga Agaali Tegannawangulwa

13 (A)Awo Yoswa[a] bwe yali ng’akaddiye ng’amaze emyaka mingi. Mukama n’amugamba nti, “Okaddiye omaze emyaka mingi naye, wakyaliwo ensi nnyingi nnyo ez’okuwangula.

“Zino z’ensi ezikyaliwo:

“ensi yonna ey’Abafirisuuti n’Abaseguli (B)okuva ku mugga Sikoli oguli ebuvanjuba wa Misiri, n’okwambukira ddala ku nsalo y’e Ekuloni emanyiddwa nga ey’Abakanani, eriyo abafuzi bataano ab’Abafirisuuti, ow’e Gaza, n’ow’e Asudodi, n’ow’e Asukulooni, n’ow’e Gaasi n’ow’e Ekuloni awamu n’Abavi.

(C)Okuva mu bukiikaddyo ensi yonna ey’Abakanani, ne Meyala ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey’Abamoli,

(D)n’ensi y’Abagebali,

ne Lebanooni yonna, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’okuva ku Baalugadi wansi w’olusozi Kerumooni okutuuka w’oyingirira e Kamasi.

(E)“N’abantu bonna ab’omu nsozi za Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayima, be Basidoni bonna; nze kennyini ndibagoba mbaggye mu maaso g’abaana ba Isirayiri. Kakasa nti ensi eno ogigabira abaana ba Isirayiri nga bwe nakulagira. (F)Noolwekyo ojja kugigabanya ng’omugabo eri ebika omwenda era n’ekitundu ky’ekika kya Manase.”

Ensi Ebuvanjuba bwa Yoludaani

(G)Ekitundu ekirala ekya Manase, n’Abalewubeeni n’Abagaadi ne baweebwa omugabo gwabwe, Musa bwe yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagabira.

(H)Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni; 10 (I)n’ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo y’abaana ba Amoni.

11 (J)Era kyatwaliramu Gireyaadi, n’ekitundu ky’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’olusozi lwonna Kerumooni ne Basani yonna okutuukira ddala ku Saleka. 12 (K)Obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyali afuga mu Asutaloosi ne mu Ederei, ye yali asigaddewo yekka ku Balefa, bwawangulwa Musa n’atwala ensi yaabwe. 13 (L)Naye abaana ba Isirayiri tebaawangula Bagesuli wadde Abamaakasi, bwe kityo Abagesuli n’Abamaakasi ne babeera wakati mu bo ne leero.

14 (M)Ekika kya Leevi kyokka Musa ky’ataawa mugabo, ebiweebwayo ebyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda wa Isirayiri, gwe mugabo gwe nga bwe yamugamba.

Ensi ya Lewubeeni

15 Musa yagabira ekika ky’abaana ba Lewubeeni ng’enju zaabwe bwe zaali:

16 (N)Ensalo yaabwe ng’eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu eky’Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna oluliraanye Medeba, 17 (O)ne Kesuboni, n’ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi, ne Diboni ne Bamosi Baali, ne Besubaalumyoni; 18 (P)ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi; 19 (Q)ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw’Ekiwonvu, 20 (R)ne Besupyoli ne Pisuga awayambukirwa ku lusozi, ne Besu Yesimosi, 21 (S)n’ebibuga byonna eby’omu lusenyi, n’obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugira mu Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n’abaami abaali bafuga ab’e Midiyaani, eri ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, n’abalangira ba Sikoni abaabeeranga mu nsi. 22 (T)Era ne mu abo be batta n’ekitala, abaana ba Isirayiri battiramu n’omulaguzi Balamu omwana wa Byoli. 23 Era n’ensalo y’abaana ba Lewubeeni yali omugga Yoludaani. Ebibuga n’ebyalo byamu Musa yabiwa abaana ba Lewubeeni okuba omugabo gwabwe.

Ensi y’Abagaadi

24 Musa yagabira ekika kya Gaadi omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali:

25 (U)Ettaka lyabwe lyali Yazeri, n’ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n’ekitundu ky’ensi y’abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri okumpi ne Labba, 26 (V)n’okuva e Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu, era n’okuva ku Makanayimu okutuuka mu nsi y’e Debiri, 27 (W)ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besu Nimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, n’ekitundu ekyasigalawo ekyobwakabaka bwa Sikoni kabaka ow’e Kesuboni, Yoludaani n’ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw’ennyanja ey’e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba.

28 (X)Eyo y’ensi eyafuuka omugabo gw’abaana ba Gaadi ng’enju zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byamu.

Ensi y’Abamanase

29 Musa n’awa ekitundu ky’ekika kya Manase omugabo gwabwe, abaana ba Manase ne bagabirwa omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali.

30 (Y)N’ensalo yaabwe ng’eya Makanayimu, n’eyita mu Basani n’obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w’e Basani, n’ebibuga ebya Yayiri, ebiri mu Basani ebibuga nkaaga; 31 (Z)n’ekitundu ekimu ekya Gireyaadi ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby’obwakabaka bwa Ogi mu Basani byali b’abaana ba Makiri omwana wa Manase, ekitundu eky’abaana ba Makiri ng’enju zaabwe bwe zaali.

32 Ogwo gwe mugabo Musa gwe yagaba mu nsenyi eza Mowaabu, emitala wa Yoludaani ebuvanjuba bwa Yeriko. 33 (AA)Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa mugabo. Mukama Katonda wa Isirayiri, ye mugabo gwabwe gwe yabawa, nga Mukama bwe yabagamba.

Footnotes

  1. 13:1 Yoswa yali wakati w’emyaka kyenda n’ekikumi, ate Kalebu ye ng’aweza emyaka kinaana mu etaano

Land Still to Be Taken

13 When Joshua had grown old,(A) the Lord said to him, “You are now very old, and there are still very large areas of land to be taken over.

“This is the land that remains: all the regions of the Philistines(B) and Geshurites,(C) from the Shihor River(D) on the east of Egypt to the territory of Ekron(E) on the north, all of it counted as Canaanite though held by the five Philistine rulers(F) in Gaza, Ashdod,(G) Ashkelon,(H) Gath and Ekron; the territory of the Avvites(I) on the south; all the land of the Canaanites, from Arah of the Sidonians as far as Aphek(J) and the border of the Amorites;(K) the area of Byblos;(L) and all Lebanon(M) to the east, from Baal Gad below Mount Hermon(N) to Lebo Hamath.(O)

“As for all the inhabitants of the mountain regions from Lebanon to Misrephoth Maim,(P) that is, all the Sidonians, I myself will drive them out(Q) before the Israelites. Be sure to allocate this land to Israel for an inheritance, as I have instructed you,(R) and divide it as an inheritance(S) among the nine tribes and half of the tribe of Manasseh.”

Division of the Land East of the Jordan

The other half of Manasseh,[a] the Reubenites and the Gadites had received the inheritance that Moses had given them east of the Jordan, as he, the servant of the Lord, had assigned(T) it to them.(U)

It extended from Aroer(V) on the rim of the Arnon Gorge, and from the town in the middle of the gorge, and included the whole plateau(W) of Medeba as far as Dibon,(X) 10 and all the towns of Sihon king of the Amorites, who ruled in Heshbon,(Y) out to the border of the Ammonites.(Z) 11 It also included Gilead,(AA) the territory of the people of Geshur and Maakah, all of Mount Hermon and all Bashan as far as Salekah(AB) 12 that is, the whole kingdom of Og in Bashan,(AC) who had reigned in Ashtaroth(AD) and Edrei.(AE) (He was the last of the Rephaites.(AF)) Moses had defeated them and taken over their land.(AG) 13 But the Israelites did not drive out the people of Geshur(AH) and Maakah,(AI) so they continue to live among the Israelites to this day.(AJ)

14 But to the tribe of Levi he gave no inheritance, since the food offerings presented to the Lord, the God of Israel, are their inheritance, as he promised them.(AK)

15 This is what Moses had given to the tribe of Reuben, according to its clans:

16 The territory from Aroer(AL) on the rim of the Arnon Gorge, and from the town in the middle of the gorge, and the whole plateau past Medeba(AM) 17 to Heshbon and all its towns on the plateau,(AN) including Dibon,(AO) Bamoth Baal,(AP) Beth Baal Meon,(AQ) 18 Jahaz,(AR) Kedemoth,(AS) Mephaath,(AT) 19 Kiriathaim,(AU) Sibmah,(AV) Zereth Shahar on the hill in the valley, 20 Beth Peor,(AW) the slopes of Pisgah, and Beth Jeshimoth— 21 all the towns on the plateau(AX) and the entire realm of Sihon king of the Amorites, who ruled at Heshbon. Moses had defeated him and the Midianite chiefs,(AY) Evi, Rekem, Zur, Hur and Reba(AZ)—princes allied with Sihon—who lived in that country. 22 In addition to those slain in battle, the Israelites had put to the sword Balaam son of Beor,(BA) who practiced divination.(BB) 23 The boundary of the Reubenites was the bank of the Jordan. These towns and their villages were the inheritance of the Reubenites, according to their clans.(BC)

24 This is what Moses had given to the tribe of Gad, according to its clans:

25 The territory of Jazer,(BD) all the towns of Gilead(BE) and half the Ammonite country as far as Aroer, near Rabbah;(BF) 26 and from Heshbon(BG) to Ramath Mizpah and Betonim, and from Mahanaim(BH) to the territory of Debir;(BI) 27 and in the valley, Beth Haram, Beth Nimrah,(BJ) Sukkoth(BK) and Zaphon(BL) with the rest of the realm of Sihon king of Heshbon (the east side of the Jordan, the territory up to the end of the Sea of Galilee[b](BM)). 28 These towns and their villages were the inheritance of the Gadites,(BN) according to their clans.

29 This is what Moses had given to the half-tribe of Manasseh, that is, to half the family of the descendants of Manasseh, according to its clans:

30 The territory extending from Mahanaim(BO) and including all of Bashan,(BP) the entire realm of Og king of Bashan(BQ)—all the settlements of Jair(BR) in Bashan, sixty towns, 31 half of Gilead, and Ashtaroth and Edrei (the royal cities of Og in Bashan).(BS) This was for the descendants of Makir(BT) son of Manasseh—for half of the sons of Makir, according to their clans.(BU)

32 This is the inheritance Moses had given when he was in the plains of Moab(BV) across the Jordan east of Jericho.(BW) 33 But to the tribe of Levi, Moses had given no inheritance;(BX) the Lord, the God of Israel, is their inheritance,(BY) as he promised them.(BZ)

Footnotes

  1. Joshua 13:8 Hebrew With it (that is, with the other half of Manasseh)
  2. Joshua 13:27 Hebrew Kinnereth