Add parallel Print Page Options

Okugabanya ensi ebuvanjuba bwa Yoludaani

14 (A)Bino by’ebitundu Abayisirayiri bye baafuna ng’omugabo mu nsi y’e Kanani, Eriyazaali[a] kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuuni, n’emitwe gy’ennyumba eza bakitaabwe ez’ebika by’abaana ba Isirayiri bye baabagabira. (B)Emigabo baagifunanga nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa olw’ebika omwenda n’ekitundu, (C)kubanga Musa yali agabidde ebika ebibiri n’ekitundu omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani, naye Abaleevi bo teyabagabira; (D)kubanga abaana ba Yusufu baali bafuuse ebika bibiri, Manase ne Efulayimu[b], bo Abaleevi ne bataweebwa mugabo gwonna mu nsi, wabula ebibuga byokka eby’okubeeramu, n’ensiko ey’okulundiramu ebisibo byabwe n’ebintu byabwe. (E)Abantu ba Isirayiri ne bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:1 Eriyazaali Yali mutabani wa Alooni.
  2. 14:4 Manase ne Efulayimu Yakobo yali yeetwalidde abaana ba Yusufu okuba ababe (Lub 48:5). Noolwekyo baali bateekwa okugabana ku by’obusika ng’abaana abalala bonna aba Yakobo.