Add parallel Print Page Options

Okugabana Ettaka eryali Lisigaddewo

18 (A)Ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu Siiro[a] ne basimba eyo Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ensi yali mu mikono gyabwe,

Read full chapter

Footnotes

  1. 18:1 Siiro Kyali kilomita ng’amakumi ana okuva e Yerusaalemi. Kyali kifuuse kibuga kya byabufuzi ate nga ky’ekifo ekikulu awasinzibwa mu Isirayiri. Eweema ya Mukama yasigala mu Siiro okutuusa mu biro bya Samwiri (1Sa 4:1-11) lwe yaggyibwayo n’etwalibwa e Gibyoni (1By 21:29).

10 (A)Abafirisuuti ne beerwanako ne bawangula Abayisirayiri. Buli Muyisirayiri n’addukira mu nsiisira ye. Ne waba okuttibwa kunene nnyo, Abayisirayiri ne bafiirwa abaserikale abaatambuzanga ebigere emitwalo esatu. 11 (B)Essanduuko ya Katonda n’ewambibwa, era ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.

Read full chapter

22 N’ayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri kubanga essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”

Read full chapter

60 (A)N’ava mu weema ey’omu Siiro[a],
    eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 (B)N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
    n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
    n’asunguwalira omugabo gwe.
63 (C)Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
    ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 (D)Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.

Read full chapter

Footnotes

  1. 78:60 Siiro kye kyali ekifo ekitukuvu awasinzibwanga edda mu biro bya Yoswa. Kyali mu bitundu bya Efulayimu wakati wa Beseri ne Sekemu. Essanduuko y’Endagaano yaterekebwanga eyo okutuusa mu biro bya Samwiri; kyokka Abafirisuuti baakizikiriza