Add parallel Print Page Options

Abakessi Baweerezebwa e Yeriko

(A)Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n’atuma abasajja babiri okuva e Sittimu bagende mu kyama bakette, n’abagamba nti, “Mugende mwekkaanye ensi eyo na ddala ekibuga Yeriko[a].” Bwe batyo ne bagenda. Bwe baatuukayo ne bayingira mu nnyumba y’omukazi malaaya ayitibwa Lakabu ne basula omwo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:1 Yeriko Kyali kibuga kya dda nnyo nga kiriko ebigo eby’amaanyi nga kiri kilomita munaana mu bugwanjuba bwa Yoludaani. Mwalimu emigga mingi nga kiriko ne bbugwe ow’amaanyi. Abatuuze baamu baasobolanga okwewanirira mu biseera eby’ekyeya okumala ebbanga ddene ddala. Noolwekyo kyali kifo kikulu nnyo awayingirwa mu Nsi Ensuubize.

(A)n’abagamba nti, “Nkimanyi nga Mukama abawadde ensi eno era nga ffenna tubatidde nnyo, tuweddemu n’omwoyo. 10 (B)Twawulira Mukama bwe yakaliza ennyanja emyufu nga muva e Misiri era twawulira bwe mwazikiriza Sikoni ne Ogi bakabaka b’Abamoli emitala w’omugga Yoludaani. 11 (C)Amangwago nga twakakiwulira emitima gyatutyemuka, era teri n’omu ku ffe yasigalamu ndasi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda w’omu ggulu ne mu nsi.” 12 (D)N’abagamba nti, “Nga nange bwe mbakoledde ebyekisa, mbasaba nammwe munkolere bwe mutyo nga mulayira mu linnya lya Mukama era mumpe n’obukakafu 13 nga mulitutaliza; nze, ne kitange, ne mmange, ne baganda bange, ne bannyinaze awamu n’abo bonna be babeera nabo.” 14 (E)Abasajja abo ne baddamu nti, “Bw’otolituloopa, naffe tulibawonya Mukama ng’atuwadde ensi eno; era Mukama atuzikirize bwe tutalikola bwe tutyo.”

Read full chapter