Yoswa 6:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Bw’atyo Mukama n’abeera ne Yoswa, era ettutumu lya Yoswa ne libuna ensi eyo yonna.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 26:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Abamoni ne bawanga Uzziya busuulu, era n’erinnya lye ne lyatiikirira n’okutuusa ku nsalo ya Misiri, kubanga yali afuuse wa maanyi nnyo.
Read full chapter
Okuva 15:14-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Amawanga galikiwulira ne gakankana,
ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku.
15 (B)Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde;
abakulembeze ab’amaanyi aba Mowaabu balikankana;
abatuuze b’omu Kanani baliggwaamu endasi.
16 (C)Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.
Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega,
balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama,
okutuusa abantu bo, be wanunula,
lwe baliyitawo.
Ekyamateeka Olwokubiri 2:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Okutandika n’olunaku lwa leero amawanga gonna ag’oku nsi nzija kugateekamu entiisa bakankane nga bawulidde ettutumu lyo babeere mu kutiitiira n’okunyolwa ku lulwo.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.