Add parallel Print Page Options

(A)Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso g’Essanduuko ya Mukama okuzibya obudde.

Read full chapter

(A)Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.

Read full chapter

32 (A)Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y’olusozi, abantu gye baasinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki[a] yaliyo okumusisinkana, ekkooti ye ng’eyulise n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu.

Read full chapter

Footnotes

  1. 15:32 Omwaluki Abaluki baalina oluganda ku Bayisirayiri (Yos 16:2).

Abayirisirayiri Baatula Ebibi Byabwe

(A)Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi gwe gumu, Abayisirayiri ne bakuŋŋaana ne basiiba, nga bambadde ebibukutu era nga beesiize enfuufu ku mitwe gyabwe.

Read full chapter

12 (A)Tebaamutegeererawo nga bakyali wala, olw’embeera gye yalimu; ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakuba ebiwoobe ne bayuza ebyambalo byabwe ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe.

Read full chapter