Add parallel Print Page Options

    (A)Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza;
    olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte.
Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo,
    ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi.
Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda,
    era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.

Read full chapter

11 (A)Mukama akulembera eggye lye
    n’eddoboozi eribwatuuka.
Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi.
    Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi.
Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu
    era lwa ntiisa nnyo.
    Ani ayinza okulugumira?

Read full chapter

25 “Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo.
    Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera,
    n’enzige ezisala obusazi,
    awamu n’ezo ezizikiririza ddala.

Read full chapter

Obwoya bwazo nga buli ng’enviiri z’abakazi, ate go amannyo gaazo gaali ng’ag’empologoma.

Read full chapter