Yoweeri 2:4-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Zifaanana ng’embalaasi,
era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.
5 (B)Zigenda zibuuka ku nsozi
nga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera;
ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga
ziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.
Yeremiya 8:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;
ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.
Bajja okuzikiriza
ensi ne byonna ebigirimu,
ekibuga ne bonna abakibeeramu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.