Add parallel Print Page Options

10 (A)Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala,
    n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu;
omunafu agambe nti,
    “Ndi wa maanyi.”

Read full chapter

(A)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
    akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
    amagaali n’engabo abyokya omuliro.

Read full chapter

(A)Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo
    na buli kyambalo ekibunye omusaayi,
biriba bya kwokebwa,
    bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.

Read full chapter

(A)Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
    n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;
era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;
    era omwana omuto yalizirabirira.
Ente n’eddubu biririira wamu,
    abaana baazo banaagalamiranga wamu.
    Empologoma erirya omuddo ng’ente.
N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
    n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
(B)Tewalibeera kukolaganako bulabe
    wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.
Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,
    ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.

Read full chapter

18 (A)Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe,
    mu maka amateefu
    mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.

Read full chapter

18 (A)Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano
    n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga,
    n’ebyewalula ku ttaka,
era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi,
    bonna ne batuula mirembe.

Read full chapter

10 (A)Efulayimu ndimuggyako amagaali,
    ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi,
    n’omutego gw’obusaale gulimenyebwa
era alireeta emirembe mu mawanga,
    n’obufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala
    era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero z’ensi.

Read full chapter