Add parallel Print Page Options

14 (A)Enoka eyaliwo nga wayiseewo emirembe musanvu okuva ku Adamu, abantu bano yaboogerako eby’obunnabbi nti, “Mulabe Mukama ajja n’abatukuvu be abangi ennyo.

Read full chapter

(A)Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye
    ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.

Read full chapter

Laba olunaku lwa Mukama lujja,
    olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka
okufuula ensi amatongo,
    n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.

Read full chapter

11 (A)Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo,
    n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe.
Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala
    era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.

Read full chapter

12 (A)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Olw’okugaana obubaka buno,
    ne mwesiga okunyigirizibwa,
    ne mwesiga omulimba,
13 (B)ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
    alimu enjatika era azimbye,
    okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14 (C)Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
    n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
    okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
    oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”

Read full chapter

18 (A)“Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange;
    nneme okusirisibwa!

Read full chapter

50 Era ab’omulembe guno kyemuliva muvunaanibwa olw’omusaayi gwa bannabbi bonna okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, 51 (A)okuva ku musaayi gwa Aberi okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w’ekyoto ky’ebiweebwayo ne yeekaalu. Mmwe ab’omulembe guno mbategeeza nti mugenda kuvunaanibwa olw’ebyo byonna.

Read full chapter