Add parallel Print Page Options

23 (A)n’abalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi z’omuliro, n’abalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ng’aboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.

Read full chapter

(A)Entebe ey’obwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe.

Read full chapter

11 (A)Buli omu ku bo n’aweebwa ekyambalo ekyeru, era ne bagambibwa okugira nga bawummulako okutuusa baganda baabwe abalala era baweereza bannaabwe aba Yesu abaali bagenda okuttibwa, lwe balibeegattako.

Read full chapter

Ekibiina ky’Abantu Obutabalika nga bambadde Ebyambalo Ebyeru

(A)Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe.

Read full chapter

13 Awo omu ku bakadde n’ambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyeru obamanyi, era omanyi gye bava?”

Read full chapter

14 (A)Ne nziramu nti. “Mukama wange, gw’omanyi.”

N’aŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga.

Read full chapter