Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,
    n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.

Read full chapter

31 (A)Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu,
    kubanga talina ky’ajja kuganyulwa.

Read full chapter

21 (A)Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. 22 (B)Beeyita ab’amagezi ne bafuuka abasirusiru, 23 (C)ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi ky’omuntu aggwaawo, n’eky’ebinyonyi, n’eky’ebirina amagulu ana n’eky’ebyewalula.

Read full chapter

28 (A)Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera n’omutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana.

Read full chapter

11 (A)Katonda kyava abawaayo eri okubuzibwabuzibwa okw’amaanyi bakkirize eby’obulimba.

Read full chapter

13 (A)Naye abakozi b’ebibi n’abalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula.

Read full chapter

(A)Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi
    n’engalo zammwe zibunye obutali butuukirivu,
emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba,
    n’ennimi zammwe z’ogedde eby’ekko.

Read full chapter

(A)Tewali awaaba bya nsonga
    so tewali awoza mu mazima;
Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba,
    ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.

Read full chapter

13 (A)obujeemu n’enkwe eri Mukama
    era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe.
Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza,
    okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.

Read full chapter

25 (A)Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

Read full chapter