Add parallel Print Page Options

(A)abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
    n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

Read full chapter

12 (A)Laba, abantu bange balidda okuva ewala,
    abamu, baliva mu bukiikakkono
    n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.”

Read full chapter

19 (A)Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba,
    n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba,
kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi,
    omukka gwa Mukama gwe gutwala.

Read full chapter

11 (A)Kubanga okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko n’ekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Read full chapter

29 (A)Kubanga abantu baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba, ne bava ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, ne batuula ku mmeeza mu bwakabaka bwa Katonda.

Read full chapter