Zabbuli 109:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,
era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
Ezeekyeri 26:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Olwo abalangira bonna ab’oku lukalu lw’ennyanja baliva ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka ne bambulamu ebyambalo byabwe ne baggyako n’engoye zaabwe ez’emiddalizo. Mu kutya okungi, balituula wansi ku ttaka, nga bakankana buli kaseera nga basamaaliridde.
Read full chapter
Ezeekyeri 18:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.
Read full chapter
Ezeekyeri 7:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Siribatunuulira na liiso lya kisa
newaakubadde okubasonyiwa;
naye ndibasasula ng’engeri zammwe,
n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.
Mulyoke mumanye nga nze Mukama.’
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.