Add parallel Print Page Options

(A)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
(B)Birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba.
Birina amatu, naye tebiwulira;
    birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
Birina engalo, naye tebikwata;
    birina ebigere, naye tebitambula;
    ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,

Read full chapter

19 (A)ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza.

Read full chapter

11 (A)Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo,
    wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu?
Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe
    n’ebitagasa.

Read full chapter