Add parallel Print Page Options

Zabbuli ya Dawudi.

24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
    n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
    n’agizimba ku mazzi amangi.

Read full chapter

13 (A)Kubanga tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, okuggyako eyava mu ggulu, ye Mwana w’Omuntu.

Read full chapter

(A)Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli. (B)Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti,

“Bwe yalinnya mu ggulu,
    n’atwala omunyago,
    n’awa abantu ebirabo.”

Okugamba nti “yalinnya,” kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w’ensi. 10 Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, n’ayisa waggulu w’eggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bw’ensi yonna.

Read full chapter

    (A)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
    ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.

Read full chapter

12 (A)Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye,
    n’apima eggulu n’oluta,
n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo,
    oba n’apima ensozi ku minzaani,
    n’obusozi ku kipima?

Read full chapter

(A)Asiba amazzi mu bire bye;
    ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.

Read full chapter

(A)ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,
    bwe yava mu lubuto lwayo?

“Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,
    ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,

Read full chapter

(A)Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.

Read full chapter

12 (A)Amaaso ge gaali ng’olulimi lw’omuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga y’alimanyi.

Read full chapter